Psalms 22

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 aKatonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?
Lwaki ogaana okunnyamba
wadde okuwuliriza okwaziirana kwange?
2 bAyi Katonda wange, emisana nkukoowoola, naye tonnyanukula;
n’ekiro bwe ntyo, naye siweerako.

3 cSonga ggwe Mutukuvu atudde ku Ntebe,
era ettendo lya Isirayiri yonna.
4Bajjajjaffe baakwesiganga;
baakwesiga naawe n’obawonya.
5 dBaakukoowoolanga n’obalokola;
era baakwesiganga ne batajulirira.

6 eNaye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
7 fBonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
8 g“Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!”

9 hNaye ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange,
era wampa okukwesiga
ne mu buto bwange bwonna nga nkyayonka.
10 iOlwazaalibwa ne nteekebwa mu mikono gyo;
olwava mu lubuto lwa mmange n’obeera Katonda wange.

11 jTobeera wala nange,
kubanga emitawaana ginsemberedde,
ate nga tewali mulala n’omu asobola kunnyamba.

12 kZisseddume nnyingi zinneetoolodde,
zisseddume enkambwe ez’e Basani
Basani kyali kifo ekyali ku luuyi olw’obukiikakkono obw’ebuvanjuba, era kyali kimanyiddwa olw’ente zisseddume ez’amaanyi ate nga nsava.
zinzingizizza.
13 mBanjasamiza akamwa kaabwe
ng’empologoma bw’ewuluguma ng’etaagulataagula omuyiggo gwayo.
14 nNgiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
15 oAmaanyi gampweddemu, gakaze ng’oluggyo;
n’olulimi lwange lukutte waggulu mu kibuno kyange.
Ondese awo mu nfuufu ng’omufu.

16 pAbantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
17 qAmagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
18 rBagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.

19 sNaye ggwe, Ayi Mukama, tobeera wala nange.
Ggwe, Amaanyi gange, yanguwa okunnyamba!
20 tOmponye okuttibwa n’ekitala;
obulamu bwange obw’omuwendo butaase mu maanyi g’embwa!
21Nzigya mu kamwa k’empologoma,
omponye amayembe g’embogo enkambwe.

22 uNnaategezanga ku linnya lyo mu booluganda;
nnaakutenderezanga mu kibiina ky’abantu.
23 vMmwe abatya Mukama, mumutenderezenga.
Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga;
era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mmwe abaana ba Isirayiri mwenna.
24 wKubanga tanyooma kwaziirana
kw’abo abali mu nnaku,
era tabeekweka,
wabula abaanukula bwe bamukoowoola.

25 xMu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene, ne nkutendereza olw’ebyo by’onkoledde.
Obweyamo bwange nnaabutuukirizanga mu maaso gaabo abakutya.
26 yAbaavu banaalyanga ne bakkuta,
abo abanoonya Mukama banaamutenderezanga.
Emitima gyabwe ginaajaguzanga emirembe gyonna.

27 zEnsi zonna zirijjukira
ne zikyukira Mukama,
ebika byonna eby’amawanga gonna
birimuvuunamira.
28 aaKubanga obwakabaka bwonna bwa Mukama,
era y’afuga amawanga gonna.

29 abAbagagga bonna ab’omu nsi balirya embaga, ne bamusinza.
Bonna abagenda mu nfuufu, balimufukaamirira,
abatakyali balamu.
30 acEzadde lyabwe lirimuweereza;
abaliddawo balibuulirwa ekigambo kya Mukama.
31 adN’abo abatannazaalibwa
balibuulirwa obutuukirivu bwe nti,
“Ekyo yakikoze.”
Copyright information for LugEEEE